Exodus 12:15-20

15 aMunaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse
Okuyitako kyekuva kuyitibwa embaga ey’omugaati ogutali muzimbulukuse.
okumala ennaku musanvu; era ku lunaku olusooka, mu nnaku ezo omusanvu, ekizimbulukusa mukiggiranga ddala mu nnyumba zammwe, kubanga alivumbulwa ng’alidde omugaati ogulimu ekizimbulukusa, okuva ku lunaku olusooka okutuusa ku lunaku olw’omusanvu, aligobebwa mu Isirayiri.
16Ku lunaku olusooka wanaabangawo olukuŋŋaana olutukuvu, ne ku lunaku olw’omusanvu munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu; ennaku ezo temuzikolerangako mulimu gwa ngeri yonna, okuggyako okufumba emmere abantu bonna gye banaalya, kye kyokka kye mujjanga okukola.

17 c“Mukwatanga Embaga ey’Emigati Egitali mizimbulukuse, kubanga ku lunaku luno lwennyini kwe naggyira ebika bya Isirayiri mu nsi y’e Misiri. Noolwekyo olunaku luno munaalukwatanga n’ab’omu mirembe gyonna egiriddawo. Ekyo kiragiro eky’emirembe n’emirembe. 18 dMu mwezi ogusooka, munaalyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa, okuva mu kawungeezi ak’olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, okutuusa ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu olw’omwezi ogwo. 19Okumala ennaku musanvu mu nnyumba zammwe temulabikangamu ekizimbulukusa; era alivumbulwa ng’alidde ekintu kyonna omuli ekizimbulukusa, agenda kugobwa mu Isirayiri, ne bwaliba omuzaaliranwa oba omugwira. 20Temulyanga kintu kyonna omuli ekizimbulukusa; mu nnyumba zammwe mwe musula yonna, mulyanga emigaati egitali mizimbulukuse.”

Copyright information for LugEEEE